Proverbs 4

Amagezi ge gali ku Ntikko

1 aMuwulirize baana bange okuyigiriza kwange ng’okwa kitammwe,
era musseeyo omwoyo mufune okutegeera.
2Kubanga mbawa okuyigiriza okulungi;
temulekanga biragiro byange.
3Bwe nnali omuvubuka nga ndi ne kitange,
omwana omu yekka omwagalwa, owa mmange,
4 byanjigiriza n’aŋŋamba nti, “Ebigambo byange bikuumenga ku mutima gwo,
kuuma ebiragiro byange obeere mulamu.
5 cFuna amagezi; funa okutegeera,
teweerabiranga era tovanga ku bigambo bya mu kamwa kange.
6 dTogalekanga, nago ganaakukuumanga,
gaagale nago ganaakulabiriranga.
7 eDdala amagezi kye kintu ekisingira ddala obukulu;
noolwekyo fuba ofune amagezi, era fubira ddala nnyo ofune okutegeera.
8 fAmagezi gagulumize, nago gajja kukuyimusa,
gaanirize, nago gajja kukuweesa ekitiibwa.
9 gAmagezi gajja kukutikkira engule ey’ekisa,
era gakuwe n’engule ey’ekitiibwa.”

Enjawulo wakati w’Ab’amagezi n’Abagwenyufu

10 hWuliriza ggwe, mutabani, era okkirize ebigambo byange
olyoke owangaalire ku nsi n’essanyu eringi.
11 iNkuluŋŋamya mu kkubo ery’amagezi,
ne nkukulembera mu makubo ag’obutuukirivu.
12 jBw’onootambulanga, ekigere kyo kireme okuziyizibwa;
era bw’onoddukanga, tojjanga kwesittala.
13 kNywerezanga ddala okuyigirizibwa, tokutanga:
kukuumenga kubanga bwe bulamu bwo.
14 lToyingiranga mu kkubo ly’abakozi b’ebibi,
wadde okutambulira mu kkubo ly’abantu aboonoonyi.
15Lyewalenga, tolitambulirangamu,
liveeko okwate ekkubo lyo.
16 mKubanga abakozi b’ebibi tebayinza kwebaka okuggyako nga bakoze ebibi,
era otulo tubabulira ddala bwe baba tebalina gwe bakozeeko bulabe.
17Okukola ebibi y’emmere yaabwe,
n’okukozesa eryanyi kye kyokunywa kyabwe.

18 nEkkubo ly’abatuukirivu liri ng’enjuba eyakavaayo,
eyeeyongera okwaka okutuusa obudde lwe butangaalira ddala.
19 oNaye ekkubo ly’ababi liri ng’ekizikiza ekikutte,
tebamanyi kibaleetera kwesittala.

20 pMutabani wange wuliriza n’obwegendereza ebigambo byange;
osseeyo omwoyo eri bye nkutegeeza;
21 qebigambo bino tebikuvangako,
bikuumire ddala mu mutima gwo,
22 rkubanga bya bulamu eri abo ababifuna,
era biwonya omubiri gwabwe gwonna.
23 sEkisinga byonna kuuma omutima gwo,
kubanga y’ensulo y’obulamu bwo.
24Weewalire ddala eby’obubambavu
era n’okwogera ebya swakaba.
25Amaaso go gatunulenga butereevu,
era otunulenga n’obumalirivu eyo gy’olaga.
26 tTtereeza bulungi amakubo go;
okwate amakubo ageesigika gokka.
27 uTokyamanga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono;
ebigere byo byewalenga ekkubo ekyamu.
Copyright information for LugEEEE